Isaiah 53:7-12


7 aYanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
bw’atyo bwe yasirika.
8 bMu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa.
Ani amanyi ku bye zadde lye?
Yaggyibwa mu nsi y’abalamu,
ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
9 cNe bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi,
n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe,
newaakubadde nga teyazza musango
wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.

10 dSonga ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta,
era n’okumuleetera okubonaabona.
Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde,
era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11 eOluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe,
bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera.
Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu;
era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12 fKyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.
Copyright information for LugEEEE